UCDA eyagala obuwumbi 13 ebweyambise okuyigiriza abantu okunywa kaawa
Uganda Coffee Development Authority (UCDA) esaba obuwumbi bw’ensimbi 13.952 obwenyongereza bukozesebwe mu bintu ebirala ebyomugaso ebitateekebwamu nsimbi okuli; akawumbi 1.566 okutumbula emmwaanyi ya Uganda mu Ggwanga lya China, akawumbi 1.66Bn okutumbula emmwaanyi ya Uganda mu Middle East ne Maghreb, n’endala akawumbi 1.2 okuzimba coffee hub e Kyambogo okuyingiriza Bannayuganda okunywa kaawa. Akakiiko ka Palamenti kewuunyizza […]
UWEC eyagala obuwumbi 10 okuzaalisa empologoma
Uganda Wildlife Conservation Education Centre (UWEC) eyagala obuwumbi 10 mu mbalirira y’omwaka 2024/25 okuzaalisa empologoma okusobola okwongera ku bungi bwazo mu Ggwanga. UWEC egamba nti zakendera okuva ku 460 mu 2022 nga kati ziri nga 320, nga bagamba nti kino kivudde kulwanira butonde wakati w’abantu n’ebisolo byomunsiko.
Kkooti eyisizza ekiragiro ekikwata Molly Katanga
Omulamuzi wa Kkooti ya Nakawa Elias Kakooza azzeemu nayisa ekibbaluwa kibakuntumya ekirala eri Molly Katanga oluvannyuma lwokulemererwa okulabakiko mu Kkooti emirundi egiwerako ku musango gwokuttemula bba Katanga. Omulamuzi alagidde Uganda Police Force okukwata Molly Katanga obutassukka nga 12/Feb/2024 nategeeza nti ebiwandiiko bye Ddwaliro ebireeteddwa Bannamateeka be tebimatiza. Kakooza ategeezezza nti Molly Katanga nebwaba mulwadde Kkooti […]
Anyigirizibwa noyo ayita mu kaseera akazibu ddukira eri Mukama – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olunaku lweggulo yegasse ku bakirizza e Jinja Karoli mu Kawempe mu misa ku makya. Yeebazizza nnyo Rev. Father Charles Kimbowa eyamwanirizza wamu n’okumuwa emikisa wamu n’abakirizza abamwanirizza. Kyagulanyi agamba nti wakati mu kusoomoozebwa n’okuniyigirizibwa ekifo ekituufu gyolina okuddukira okufuna okukakanyizibwa ebeera nnyumba ya […]
Omubiri gwa Hon. Ogwal gutwaliddwa mu Palamenti
Omubiri gw’abadde omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Dokolo, Cecilia Barbara Atim Ogwal gutuusiddwa ku Palamenti enkya yaleero okusobozesa Ababaka okumukubako eriiso evvannyuma n’okusiima emirimu gyakoledde Eggwanga. Wagenda kubaawo olutuula lwa Palamenti olw’enjawulo olunaku lwaleero olusuubirwa okwetabwamu n’omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Bobi Wine yasiibye Kabowa
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Nga Military ne Uganda police bakyayongera obukuumi e Magere ssaako n’okunoonya buli wamu banzizeeyo bazingalire awaka, ettuntu lyeggulo nalimaliddeko Kabowa ngafuna ekyemisana wamu n’okwogerezeganyaamu n’abantu. Abantu baffe bwebukuumi bwaffe obusingayo. Enkya (leero) tusaleko wa?”
Omubiri gw’Omubaka ogwala gukomezeddwawo
Omubiri gw’Omubaka Cecilia Ogwal gukomezeddwawo olwaleero okuva mu Ggwanga lya Buyindi gyeyafiira ku lunaku olwokusatu. Sipiika wa Palamenti Anitah Among abaddewo ku kisaawe Entebe n’abakungu abalala ssaako ab’oluganda lw’omugenzi. Speaker Among awerekeddwako Nnampala wa Gavumenti Hamson Obua, Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, Minisita w’ebyemizannyo Peter Ogwang, Parliamentary Commissioners Solomon Silwany ne Esther Afoyocan. […]
Hon. Sseggona yawaddeyo offiisi mu butongole eri Hon. Muwanga
Hon. Medard Sseggona (Busiro East) yakwasizza mu butongole offiisi eri Ssentebe wa PAC (Central) omuggya, Hon. Muwanga Kivumbi (Butambala County). Hon. Kivumbi yakkaatirizza omugaso gwokweteekateeka wamu n’okwanukula ebibuuzo byonna ebibaawo mu budde n’okukola Alipoota z’Obukiiko.
Katikkiro alambudde amasiro g’e Kasubi
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nnambudde omulimu ogukolebwa ku Masiro e Kasubi, era kati ebitundu nga 90 ku 100 tubimaliriza ku mulimu guno. Buli lwetambula omulimu guno, enjawulo erabika era ebisigaddeyo bitono nnyo, naddala munda, essaawa yonna omulimu tugenda kuguggyako engalo, Amasiro gaggulwewo.”