Kikafuuwe okulya ssente ya Museveni- Mabikke

Kasasiro munoonye gyemumutwala – Mmeeya Kalema

Meeya wa Katabi Town Council Ronald Kalema agadde ekifo awayiibwa kasasiro e Nkumba oluvannyuma lwa Entebe Municipality obutavaayo ku byebakaanyako ne prime minister webabasisikana ku nsonga yakasasiro. Ebimotoka bya kasasiro okuli; ebya Uganda Police Force, Nabugabo Updeal, Domestic waste ne Homeklin ebibadde bitisse kasasiro bigaaniddwa okumuyiwa mu kifo kino. Meeya Kalema abalagidde okugenda bayiwale kasasiro […]

Lukwago ne banne batandiwe okunoonya emikono

Pulezidenti ow’ekiseera ow’ekibiina kya Forum for Democratic Change ekiwayi eky’e Katonga Erias Lukwago olunaku olwaleero alangiridde nga bwebatandise okukungaanya emikono okwetoloola Eggwanga lyonna okubasobozesa okuwandiisa ekibiina kyaabwe ekiggya ekya People’s Front for Freedom. Mu tteeka bano balina okukungaanya emikono 50 okuva mu Disitulikiti lwakiri 97 eza Uganda. Bya Nasser Kayanja #ffemmwemmweffe

Gashumba nkusonyiye – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nkyazizza Frank M. Gashumba, azze okwetonda olw’ebigambo eby’obusagwa by’amaze ebbanga ng’anjogerera. Agambye nti bwe yekkaanyizza ate n’olwo’kubuulirirwa omugenzi Arch. Cyprian Lwanga, Bp. Serverus Jjumba ne Jude Mbabaali n’alaba ng’abadde mu nsobi. Okwetonda nkukkiriza kubanga Kabaka yatugamba nti okwetonda kikolwa kya Buntubulamu.” #ffemmwemmweffe

Don Nasser aziddwayo e Luzira

Don Nasser aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23-10-24 oluvannyuma lwa Uganda Police Force okutegeeza nti ekyanoonyereza ku bigambibwa nti akulusa abantu wamu nokusobya ku baana abawala. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe

Mungoba muleete ani ansinga – Dr. Mukiza

Executive Director wa Uganda Bureau of Statistics Dr. Chris Ndatira Mukiza avuddeyo ku nsobi ezeyolekeddemu alipoota y’okubala abantu eya National Population and Housing Census-Uganda wiiki ewedde; “Ensobi zikolebwa bantu buli lunaku. Ne mu maka gaffe, tukola ensobi nnyingi…. nabwekityo sigenda kulekulira. Nkyaweereza Ggwanga lyange lyenjagala ennyo. Mukimanye nti nze omu ku babalirizi abansinga. Mwagala kufuna […]

Okubeera n’omukyala nga temuli bafumbo mu mateeka gwandifuuka omusango

Mu bbago ly’obufumbo erya Marriage Bill 2024 eryatwalibwa mu Palamenti nga 3-October ebiteeso bingi ebyeyolekeramu omuli; 1. Okubeera n’omuntu nga temuli mu bufumbo bwamateeka/ okwewasa mu butongole musango. Oyo omusango gwegusinga asasule engasi yabukadde 10 oba okusibwa emyaka 3. 2. Okwefuula n’okumenya ekisuubizo kyokuwasa omuntu musango. Ekibonerezo oliwa ensimbi oli zasaazanyizza. 3. Singa muba musazeewo […]

Sipiika Luyombya adduukiridde essomero eryakwata omuliro

Sipiika wa Kkanso y’e Nakawa Godfrey Luyombya era nga yemutandisi wa Godfrey Luyombya Foundation, adduukiridde essomero lya Side View Nursery and Primary School erisangibwa e Mbuya mu Nakawa eryakwata omuliro gyebuvuddeko ebintu bingi nebyonoonebwa omwali n’entebe. Ono atonedde essomero lino n’entebe 100 okwo kwogatta n’ebintu ebirala ebikozesebwa abayizi mu kusoma. #ffemmwemmweffe

Nze sinywa mwenge – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nze sinywa mwenge yadde, naye mpulira nti abantu bagwagala nnyo. Sisobola nakukwata ku ccupa yagwo y’esonga lwaki nsobodde okuweza emyaka 80 egyobukulu. Osobola okwongera omutindo ku matooke mu ngeri endala so ssi kugakolamu mwenge kyokka. Ebintu byonna ebikozesebwa abantu mu bungi nga amatooke, amata, emmwaanyi, kasooli n’omuwembe bisobola okwongerwako omutindo nebivaamu […]

Mulekerawo okwawulayawula mu mawanga – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mulekerawo okwawulayawula mu bantu nga mwesigamye ku mawanga n’eddiini. Mwagale Uganda kuba mugyetaaga mu nkulaakulana. Yagala Afirika kuba ogyetaaga okugenda mu maaso. Twetaaga East Africa ne Afirika okugaziya akatale.” #ffemmwemmweffe #UgandaAt62