Buli omu eyenyigira mukukola firimu yaffe weebale nnyo – Bobi Wine
Documentary Film ya #BobiWineThePeoplesPresident ewangudde engule ya Audience Choice Award mu Cinema Eye Honors 2024 mu New York. Hon. Kyagulanyi aka Bobi Wine yeebazizza abo bonna abenyigira kukola firimu eno okuva mu 2017. Firimu eno yali eraga engeri ono nabawagizi be gyebatulugunyizibwamu abebyokwerinda.
Nyabagole wa Rwenzururu akyalidde ku Basaakaate
Nyabaghole wa Rwenzururu (Omukyala w’Omusinga) Agnes Ithugu Asimawe naye olunaku olwaleero akyaliddeko Abasaakaate abali mukutendekebwa ku ssomero lya Homisdallen School e Gayaza mu Disitulikiti y’e Wakiso. Nyabaghole ayaniriziddwa Dr. Nassali Maria ku lwa Maama Nnaabagereka wa Buganda era abuuliridde Abasakaate ku ngeri omuntu gyalina okweyisaamu nga yogerako eri abantu.
Ebyentambula ku luguudo lwa Northern Bypass bigenda kutaataganyizibwa – Poliisi
Poliisi y’ebidduka evuddeyo netegeeza nga bwewagenda okubeerawo okutaataganya mu ntambula y’ebidduka nga Uganda yeteekerateekera okukyaaza abakulembeze abagenda okwetaba mu lukungaana lwa NAM n’olwa G77 + China ku luguudo Northern Bypass ne Kampala – Entebbe Expressway. Poliisi egamba nti emotoka tezijja kukirizibwa kusukka Flyover ye Busega kweyongerayo ku luguudo lwa Entebe Expresswat. Ku Northern Bypass ku […]
Twandiremererwa okutandika okusoma okwobwereere – Minisita Muyingo
Minisitule y’Ebyenjigiriza n’ebyemizannyo evuddeyo netegeeza nti erina obweralikirivu nti yandiremererwa okuteekesa mu nkola ekiteeso ekyayisibwa olukiiko lwa Baminisita ekyokusoma okwobuwaze eri buli mwana ate nga kwabwereere ku mutendera gwa Pulayimale ne Ssekendule oluvannyuma lwokusaba ensimbi obuwumbi 309.162 zebasaba obutateekebwa mu mbalirira y’ebyensimbi eyomwaka 2024/25 Olukiiko lwa Baminisita lwayisa ekiteeso kyokutandika okusoma okwobwereere okwa Pulayimale mu […]
Minisitule y’ebyenjigiriza eyagala obwesedde 2 mu obuwumbi 100 okutegeka AFCON 2027
Minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo yetaaga obwesedde 2 mu obuwumbi 100 okusasulako ekitundu ku nsimbi Uganda zirina okusasula ekibiina ekitwala omupiira ku lukalu lwa Afirika ekya Confederation of African Football – CAF okutegeka ekikopo kya AFCIN 2027, okutandika okuzimba ebisaawe 2 ebirala ebyetaagibwa wabula tewaliiwo nsimbi ku zino ziteekeddwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2024/25.
Gavumenti eyimirize okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa – Hon. Dr. Ayume Charles
Dr. Ayume Charles Omubaka akiikirira Koboko Municipality asabye Gavumenti okuyimiriza okuzimba eddwaliro lya Lubowa Specialised Hospital erisuubirwa okumalawo akasiriivu 1 n’obuwumbi 44 olw’ensimbi ezibangibwa Uganda okweyongera nga kati liri mu busiriivu 97. Bino abyogedde oluvannyuma lwa Minisitule y’Ebyobulamu okukiriza nti emyaka 2 egiyise tewabadde kigenda mu maaso mu kuzimba eddwaliro ly’e Lubowa. Minisita Dr. Jane […]
Eyaloga Arua ali ku muti waggulu, buli Ambulance ebaweebwa bwebatagibba efuna akabenje
Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo nategeeza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu nti Gavumenti ekyalemeddwa okufuna ky’ekolera Eddwaliro lya Gavumenti erya Arua nti kuba buli motoka agafemulago eriweebwa bwetagwa ku kabenje bagibba. Aceng ategeezezza nti emboozi ya Arua yanaku kuba emotoka emu eyabaweebwa yabbibwa, endala eyali yakabaweebwa nefuna akabenje mu October. Ono […]
Burora atabukidde abaagala okugulira abaliko ba Ssaabaminisita emotoka ezakawumbi
RCC wa Lubaga Burora Herbert Anderson avuddeyo ku kyokuwa abaaliko abakulembeze emotoka okuli; Ruhankana Rugunda, Amama Mbabazi ne Edward Ssekandi; “Lumu waliwo mukwano gwange eyampola ssente, wenali nina okuzimusasulira nankubira naŋŋamba; ‘Manyi kyoyitamu akaseera kano. Tomenyeka nnyo kutuuka kwekutulako ngalo ngonoonya ssente zange, wonozifunira ngonsasula.’ Nga Bakkaada abato, twakula abakulu abo batusomesa okubeera n’omutima gwe […]
Pulezidenti Museveni agolodde ku magulu ne Maama Janet
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Natutte Maama Janet Kataaha Museveni tutambuleko mu maka gaffe e Rwakitura bwetwabadde tetunasimbula kudda Kampala. Wadde yawona COVID19, kiba kirungi atambuleko naddala okulinnya ku busozi kuba kiyamba okutambuza omukka ogwobulamu mu mubiri.”