Bamusiga nsimbi abatembeeya essepiti bagenda kukwatibwa – Col. Nakalema
Akulira akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga akavunaanyizibwa ku basigansimbi aka @State House Investors Protection Unit, Col. Edith Nakalema agamba nti abasigansimbi okuva ebweru w’Eggwanga abajja kuno nebonooma emsimbi ate oluvannyuma nebafundikira nga bakola emirimu egyandikoleddwa Bannayuganda kuba kusomooza kwamaanyi eri ebyokwerinda by’Eggwanga. Ono yategeezezza nti akakiiko kakulira katandise okukolera awamu n’ebitongole byebyokwerinda mu Ggwanga […]
Ku kisaawe Entebe begezezzaamu ku ngeri gyebagenda okwanirizaamu abagenyi
Olunaku lw’eggulo ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Entebe International Airport ebitongole ebyenjawulo byegezezzaamu ku kifo awatuukira abakungu ku ngeri gyebanayisaamu Abakulembeze b’amawanga amalala wamu n’abakungu abagenda okujja okwetaba mu nkuŋŋaana okuli olwa NAM ne G77 + China. Abagenda okukola ku bagenyi bano bayisiddwa mu ngeri yokubaanirizaamu, ebyokwerinda byabagenyi, okubakima ku kisaawe n’ebirala. #NAMSummitUg2024 |#G77ChinaSummitUg24
Mukyala Nakyobe asisinkanye abagenda okuvuga aba NAM
Head of Public Service era nga ye muteesiteesi omukulu ow’olukuŋŋaana lwa NAM, Lucy Nakyobe enkya yaleero asisinkanye ba ddereeva abatendekeddwa okuvuga abagenyi abagenda okwetaba mu lukuŋŋaana lwa NAM ne G77+ China ezigenda okubeerawo mu Kampala. #namsummitug2024
Abaaliko ba Ssaabaminisita ne vice president boolekedde okwefunira emotoka empya
Minisitule ya Public Service evuddeyo netegeeza nti yetaaga obuwumbi 7 mu obukadde 200 okugula emotoka empya kapyata ezaabaliko abakulembeze okuli; Edward Ssekandi ne Bassaabaminisita Ruhakana Rugunda ne Amama Mbabazi nga akasiimo gyebali nga bwekyakolebwa ku baaliko ba Sipiika.
Nnaabagereka akyalidde ku Basaakaate
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda atuuse ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza okulambula Abasaakaate wamu n’okubaako byabayigiriza ebinaabayamba mu ntambuza y’obulamu bwabwe. Ayaniriziddwa Mw. Mukalazi Kizito Hormisdas omutandisi w’essomero lino.
Mao ayagala enkolagana ya DP ne NRM ezzibwe buggya
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Uganda era nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka Norbert Mao akawangamudde nti ayagala enkolagana y’ekibiina ki DP gyekirina ne Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM ezzibwe buggya mu kisanja ky’ebyobufuzi ekiddako ekya 2026-2031. Mao agamba enkola eno yakuyambako nnyo ekibiina kya DP okukola obulungi mu kalulu aka […]
Poliisi ekutte ababbi b’emotoka e Mukono n’e Masaka
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obunyazi obw’emmundu ekya Flying Squad Unit e Masaka ne Mukono, kyakoze ebikwekweto 3 ebyenjawulo ku babbi b’emotoka okukakkana nga emotoka 5 ne piki piki 1 bizuuliddwa wamu ne nnamba z’emotoka eziwerako okuva na bagambibwa okubeera ababbi. Ababbi 3 abagambibwa okubeera abattabbu bebakwatiddwa […]
Uganda Airlines eguze bbaasi ya kayoola
Kiira Motors etongozza bbaasi empya gyetuumye Uganda Airlines coach, bwabadde annyonyola oluvannyuma lwokugyekebejja okugenda mu maaso wali mu Luweero Industries e Nakasongola, CEO wa Kiira Motors Paul Musasizi ategeezezza nti Uganda Airlines ye kkasitoma asoose okubaggulako bbaasi ya Kayoola.
LOP omuggya Ssenyonyi akwasiddwa offiisi mu butongole
Hon. Joel Ssenyonyi akwasiddwa woofiisi y’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu butongole okuva ewa Hon. Mathias Mpuuga Nsamba eyaweereddwa obuvunaanyizibwa obulala. Mu bimukwasiddwa mulimu fayiro erambika emirimu bwegibadde gitambula kwalina okutandikira.