Obukadde 600 bwetusaba Baminisita ba Kampala bebazisaka – KCCA

Ssente twazoononera mu kunoonya abawagizi ba NUP abagambibwa okubuzibwawo abataliiyo – Wangadya

Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya avuddeyo nategeeza nti ezimu ku nsimbi ezaweebwa Akakiiko bazikozesa okunoonya abawagizi ba National Unity Platform abagambibwa okubuzibwawo so nga tekyali kituufu. Wangadya, asabye Palamenti ebongere obuwumbi 3.756 zibayambe ku kwongera ku misaala gyabakozi wamu n’ensako nategeeza nti bafuna emitwalo 60 buli […]

University ezisomesa amateeka zinoonyerezebweko – LDC

Law Development Centre – LDC evuddeyo nesaba Law Council etandike okunoonyereza ku ssetendekero ezimu mu Uganda zebagamba nti zigaba obubonero obwawaggulu eri abayizi abasaba amateeka mu ngeri eyekyeyononero. LDC egamba nti abayizi bangi abagendayo n’obubonero obungi wabula nebalemererwa okuyita ebigezo bya LDC.

Ab’e Kalungu East bafunye amasanyalaze

Omubaka wa Kalungu East mu Palamenti, Hon. Francis Katabaazi Katongole akubirizza abatuuze b’e Kyambala ne Lwabenge abafunye amasanyalaze mu byalo gyebawangalira okugakozesa ebireeta ensimbi basobole okugasasula n’okwekulaakulanya. Bino abyogedde atongoza amazanyalaze mu byalo 10 mu ggombolola ye Bukulula ne Lwabenge.

Kkooti eragidde muwala wa Katanga akwatibwe

Ab’oluganda lwomusuubizi Henry Katanga bawaliriziddwa okwoza ku mmunnye mu Kkooti y’Omulamuzi Erias Kakooza e Nakawa, Bannamateeka ba nnamwandu Molly Katanga bwebategeezezza Kkooti nti omuntu waabwe tasobodde kujja mu Kkooti kuba teyewulira bulungi. Bannamateeka bategeezezza Kkooti nti Molly yalongooseddwa omulundi ogwokutaano nabwekityo nga tasobola kuyimirira mu kaguli nga Kkooti bweyali eragidde alabikeko gyeri. Abateeberezebwa okwenyigira mu […]

Abavubuka batabukidde Hon. Tinkasimire lwakulumba Bobi Wine

Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Barnabas Tinkasimire akiikirira Buyaga West mu Disitulikiti y’e Kagadi abavubuka baviiridde mu mbeera bweyayogedde ku Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nti yagenda ebweru nawagira ebisiyaga. Bano tebamuganyizza kumalayo byeyabadde ayogera. Bino byabadde ku mukolo gwa Hoima Diocesan Youth Day celebrations.

Poliisi etaddewo obukadde 20 ku alina kyamanyi ku bulumbaganyi obwakolebwa ku Bugingo

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Poliisi etaddewo ekirabo kya bukadde bw’ensimbi 20 eri omuntu yenna anagiwa obubaka obuyinza okugiyamba okukwata abaali emabega w’obulumbaganyi obwakolebwa ku musumba Aloysius Bugingo n’omukuumi we omugenzi CPL Richard Muhumuza ng’ono yafiira mu bulumbaganyi buno. Enanga avuddeyo era nategeeza nti Special Investigations Division ku kitebe kya […]

Pulezidenti Museveni goba Minisita Otafiire – Polly Katwiire Karamuzi

Omuwandiisi wa National Resistance Movement – NRM ow’Ekibuga Mbarara ngono era yakola ng’omukunzi wa Gen. Muhoozi Kainerugaba mu Ankole Sub-Region Polly Katwiire Karamuzi avuddeyo nasaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire gwagamba nti alemereddwa okutuukiriza emirimu gyalina okukola. Ono agamba nti abantu bangi abattiddwa mu Ggwanga […]

Poliisi yezoobye nababbi abbira mu motoka e Masaka

Amasasi ganyoose wakati mu kibuga Masaka, Uganda Police Force bwebadde egobagana n’ababbi abaludde nga babbira Bannamasaka mu mmotoka. Mu kavuvungano kano, waliwo ne ddereeva wa taxi akubiddwa amasasi ng’ono addusiddwa mu ddwaliiro e Masaka nga biwalattaka.

Eyafiira mu nnyumba eyatomerwa ennyonyi ya UPDF aziikiddwa

John Mukidi eyafa oluvannyuma lw’ennyonyi ekika kya nnamunkanga ey’Eggye lya UPDF okutomera ennyumba ye, yaziikiddwa olunaku lw’eggulo ku kyalo Nyamisigiri. Okuziika kwe kwakiriziddwako abantu batono olwokuba nti abasirikale ba UPDF babadde bakyategulula bbomu ezawandagala okuva mu nnyonyi eyaggwa netta abasirikale ba UPDF 2 ne Mukidi.