Omukazi asudde omwana e Busega

Munnayuganda avuddeyo okumenya likodi y’okufumbira ebbanga eppanvu

Munnayuganda Dorcus Bashema Kirabo aka Maama D yesowoddeyo okumenyawo likodi y’Ensi yonna eyokufumbira emmere ebbanga eddene nga wetwogerera yakafumbira essaawa 93+. Yatandika okufumba ku lwomukaaga nga 23 n’okutuusa olwaleero. Ggwe asobola genda e Kira weriire ku mmere gyafumbye ku bwereere. Tumuwagire! #mamadsworldrecord Guinness World Records

Kitalo! Abantu 5 bafiiridde mu kabenje

Kitalo! Abantu 5 okubadde omukyala n’abaana 4 bafiiridde mu kabenje ku kyalo Towei, okuliraana Sipi mu Disitulikiti y’e Kapchorwa akaguddewo ettuntu lyeggulo. Emirambo gyabano gyatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Kapchorwa.

Bannayuganda muveeyo mwegatte ku bavuddeyo okununula Eggwanga – Besigye

Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo nasaba Bannayugadna okukwatagana badde emabega w’abo abakulembeddemu enkyuukakyuuka egendereddwamu okuleeta emirembe n’enkulaakulana ey’omuggundu mu Uganda kibasobozese okutuuka ku buwanguzi. Besigye bino yabyogeredde ku lutikko e Nyamitanga esangibwa e Mbarara.

Pulezidenti Museveni asisinkanye abasawo abakyuusizza ensigo e Mulago

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasisinkanye abasawo okuva mu Ddwaliro e Mulago ne banaabwe okuva ebweru w’eggwanga abasobodde okukyuusa ensigo yomuntu okugiteeka mu mulala nga gwemulundi ogwasoose mu Uganda. Steven Mpagi yeyagiddwamu ensingo gyeyawaayo kyeyagalire neteekebwa mu muganda we Mark Maurice Kiyemba, omutuuze we Munyonyo. Okulongoosa kuno kwakoleddwa abasawo abakulembeddwamu Prof. Frank Asiimwe nga bali wamu […]

UPDF egande kutandika okuwandiisa aba LDU – Brig. Kulayigye-

Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Felix Kulayigye ategeezezza ng’eggye bwerigenda okuwandiisa abasirikale bo ku byalo 1440 okutandika nga 27-December-2023 mu Disitulikiti okuli; Kyenjojo, Kitagwenda, Bunyangabu, Kamwenge, Kyegegwa ne Kasese. Kino kikoleddwa oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuyisa ekiragiro kyokuwandiisa aba LDU bayambeko okukuuma abatuuze nga batangira obulumbaganyi obukolebwa aba ADF.

Pulezidenti Museveni enaku enkulu azikutte n’abazzukulu

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yafunyeemu akadde n’abazzukulu ku ffaamu ye e Rwakitura okubasomesa ku buwangwa, famire wamu n’obugagga obwensibo nga bayita mu byobulimi. Oluvannyuma bafunye ekifaananyi ekyawamu ne mukyala we Janet Kataaha Museveni okwo kwossa bawala baabwe, abakoddomi kko n’abazzukulu.

Mukomye ettamiiro – Ssaabalabirizi Kaziimba

Abakulistaayo abakkiriza bakungaanidde mu Lutikko ya All Saints mu Kampala okwetaba mu kusaba kwa Ssekukkulu nga okukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stephen Kaziimba Mugalu. Ssaabalabirizi Mugalu avumiridde eky’okuggyamu embuto nategeeza nti Ssekukkulu ekwata ku kutumbula bulamu, so si kubusaanyaawo. Ono era abuuliridde Bannayuganda ku kuttamiiro erisukiridde.

Mukomye okusosola mu Bannayuganda – Ssaabasumba Ssemogerere

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere; “MU Uganda yaleero tulabe nti obuli bw’enguzi bususse mu offiisi za Gavumenti, obubenje ku nguudo obususe, obutagoberera nfuga y’amateeja, ebisale by’entambula okulinnya mu biseera bya ssekukkulu, abasawo okusaba abalwadde ssente nga tebanabakolako, ebisale byamasomero ebyekalamye, okutunda obubonero mu matendekero wamu n’abantu abali mu makomera nga tebawozesebwa.”

Empaka za Mulimamayuuni cup zakomekerezeddwa

Empaka za Mulimamayuuni Cup ezategekebwa Omubaka akiikirira Mukono County North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abdallah mu kaweefube w’okukulaakulanya ebitone kyakomekerezeddwa nga buli ttiimu eyetabyeemu yaweereddwa omujoozi n’emipiira, ttiimu eyawangudde yetwalidde ente. Mu ngeri yemu era Omubaka Ono yaduukiridde abavubuka abavuga booda booda nga bakola ebibiina byabwe mwebatereka ssente, yabawadde piki piki piki empya. […]