Abasirikale ba UPDF abalabikidde mu katambi nga bakuba omuntu basindikiddwa mu kkomera

Bannamateeka ba Molly Katanga bawakanya ekya Poliisi okuyingira mu kasenge gyebamujanjabira

Bannamateeka ba Molly Katanga aba Kampala Associated Advocates baddukidde ewa Principal Judge Flavian Zeija ayingira mu nsonga zaabwe ne Uganda Police Force gyebalumiriza okulinyirira eddembe lyomuntu waabwe nga batuuse n’okuyingira mu theater mwebabadde bamututte okumulongoosa nebalagira abasawo okubawa ebiwandiiko byonna kwebajanjabira omulwadde ono, nga Bannamateeka bagamba nti kuno kuba kulinyirira ddembe lye eryobuntu. Bannamateeka bagamba […]

SC Villa 1-0 Gadafi

Mu StartTimes Uganda Premier League emipiira egisamviddwa Maroons FC 1-1 Vipers SC, Fred Amuka yateebeddw Maroons ate Milton Kaliisa natebeera Vipers, SC Villa 1-0 Gadafi. Ggoolo ya Villa eteebeddwa Ivan Boogere.

Omubaka eyenyigira mu kuwuwutanya obuwumbi 164 wetwale ku Poliisi – Sipiika

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Among avuddeyo nasaba Ababaka ba Palamenti abagambibwa okuwuwuttanya ensimbi obuwumbi 164 ezaali ezokuliyiyirira abebibiina byobwegassi okwetwala ku Uganda Police Force mu bwangu nga tebanabakwata. Ono abagambye nti oyo yenna alaba erinnya lye mu alipoota ezaweereddwa CID, IGG ne DPP yetwale ku Poliisi mu bwangu. Ono agamba nti tekikola makulu kulumiriza […]

UPDF evuddeyo e DRC

Abasirikale b’Eggye lya UPDF basanze ensalo ye Bunagana okudda e Uganda nga buva mu buvanjuba bwa Democratic Republic of the Congo gyebaali bagenze okufufugaza abayekeera abatigomya amawanga gombi.

Ekitongole ky’amakomera kyakukebera ku basibe baayo abali e Kasese

Ekitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service kyakakasizza nga bwekitandise ku okwekennenya era n’okwetegereza ebiwandiiko ebikwata ku basibe mu makomera mu bitundu bye Kasese okuzuula oba nga ne Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Martin Lukwago gyakuumirwa. Kino kiddiridde omusibe omu eyayimbuddwa mu kkomera ly’e Kasese okutuukirira ab’emikwano gya Martin Lukwago, naabategeeza nti omuntu waabwe […]

Eyatta abantu 5 asibiddwa emyaka 100

Kkooti enkulu mu Kampala ekalize Musa Musaasizi ow’emyaka 25 emyaka 105 mu nkomyo ku misango gy’okutta abantu 5. Musa eyali omwana wo kunguudo yakirizza okutta banganzi be 4 n’omwana we omuwala ow’emyezi 3. Kigambibwa nti emisango gino Musaasizi yagizza mu bbanga lya mwezi gumu e Nakulabye mu Zooni ya Mujomba mu Rubaga wakati wa 22/ […]

Tuvumirira ekikolwa kyokutulugunya abantu – Brig. Felix Kulayigye

Omwogezi wa UPDF Brig. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza nti balabye akatambi akatambula ku mikutu gya ‘Social media’ nga kalaga omusajja akubwa abantu ababulijjo n’abasirikale. Kulayigye agamba nti bakizudde nti abantu babulijjo ku Kyalo Lagot, Mucwini Sub-County, mu Disitulikiti y’e Kitgum bakutte omubbi nebagaana okumutwala ku Poliisi nebatwalira amateeka mu ngalo. Abatuuze bakubidde RDC wa Kitgum […]

Bannayuganda babalinze mulye obukadde 100 – Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Buli Mubaka wa Palamenti bamuwa enguzi ya bukadde 100 okuyisa embalirira eyenyongereza. Njagala okulabula Ababaka baffe aba NUP nti tukimanyiiko era amawulire gano tugabuliidde Bannayuganda. Sijja kuttira muntu yenna kuliiso yadde okumuwulereza olwokwenyigira mu kubba ssente y’omuwi w’omusolo.”

Gavumenti egenda kuwa Ababaka obukadde 100 okubagulirira – Hon. Muwanga Kivumbi

Omubaka wa Butambala, Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Muwanga Kivumbi asabye Bannayuganda okuteeka Ababaka baabwe ku nninga babannyonnyole ku ssente obukadde 100 Gavumenti zegenda okuwa buli Mubaka nga tewali kituufu kimanyiddwa kigenda kuzibaweesa. Kivumbi alumiriza nti ssente ezo Ababaka bagenda kuzibawa ng’akasiimo k’okuyisa ensimbi ezenyongereza mu mbalirira y’Eggwanga wabula abasabye oluzigaana kubanga bwebazirya bagenda […]