Mutuwe abantu baffe – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Tukyabanja abantu baffe abaabuzibwawo era tetujja kulekeraawo, nebaza Owek. Mathias Mpuuga Nsamba olw’okulemera ku nsonga eno. Tubanja abantu baffe oba balamu oba bafu. Nebwebaba baabaggyamu amaaso nga Omubaka Ssegona bweyatugambye nti alina obukakafu nti waliwo bebaagagyamu mubatuwe tubaagala.”
Abatunda enseenene mulina okufuna certificate – UNBS
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu Ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kisabye abo bonna abatunda enseenene n’ebiwuka ebirala ebiriibwa okufuna satifikeeti okuva mu UNBS okukakasa nti ebyo byebatundu tebirina bulabe eri abo ababirya. Mu mwaka gwa 2022, UNBS yatongoza emitendera egiyitibwa Edible Insects Standard, US 2146:2020 Edible Insects –Specification, ngekolerera wamu ne […]
Bannamateeka Abasiraamu batutte Mufti Mubajje ne Kyabajwa mu Kkooti
Bannamateeka Abasiraamu abegattira mu kibiina kyabwe ekya @Uganda Muslim Lawyers Association batutte Mufti wa Uganda Sheikh Ramadhan Mubajje n’omusuubuzi Justus Kyabahwa, mu Kkooti nga babalanga obukenuzi wamu n’okutunda ebintu by’Obusiraamu mu lukujjukujju. Baagala Kkooti esazeemu endagaano yokutunda ettaka eyakolebwa wakati wa Mubajje ne Kyabahwa.
Sipiika asisinkanye LOP ne Wangadya
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among asisinkanye akulira akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya mu maaso g’akulira oludda oluwabula Gavumenti, Hon Mathias Mpuuga Nsamba, Commissioner Hon. Solomon Silwany ne Hon. Abed Bwanika okulaba engeri gyebasobola okusisinkanamu abakulu mu Minisitule n’ebitongole ebikwatibwako ensonga z’ebyokwerinda ku nsonga z’abantu abagambibwa okubuzibwawo […]
Sirina kyenetaaga mu Amerika – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abagwiira abamu bagezaako okututeekako puleesa nga bagamba nti bwetutakola kino, tebajja kutukiriza kugenga mu Amerika. Nze saagala kugenda mu Amerika. Okugenda mu Amerika, mbeera nnyamba Bamerika, kuba buli kimu nkirina wano sirina kyenjula.”
Ababaka ba opposition 5 bakuvunaanibwa gwa bukenuzi
Omubeezi wa Minisita Harriet Ntabaazi agamba nti ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Criminal Investigation Directorate (CID) kyakamaliriza fayiro 5 era nga kizuuliddwa nti ku babulankanya ensimbi omulundi guno si Baminisita bokka, wabula n’Ababaka ba Palamenti abasoba mu 30 nga ku bano kuliko n’aboludda oluvuganya Gavumenti ekintu kyagambye nti kirungi […]
Ababaka abasoba mu 30 banoonyerezebwa kyokuwuwutanya obuwumbi 164
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobusuubuzi, amakolero n’ebibiina byobwegassi Harriet Ntabaazi avuddeyo nategeeza nti waliwo Ababaka 30 abanoonyerezebwako ku bigambibwa nti benyigira mu kuwuwuttanya obuwumbi 164 ezaali ezokuliyirira ebibiina by’obweggassi. Ono agamba nti ku bano 30 kuliko Ababaka ku ludda oluvuganya Gavumenti abalekaana ennyo saako nokwogera ennyo.
Gavumenti yeyamye okuyimbula abasibe – LOP Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti enkya yaleero afunye ebbaluwa okuba ewa Attorney General ngeyogera ku nsonga Palamenti gyeyayogeddeko eyabantu babulijjo okuvunaanirwa mu Kkooti y’amaggye ssaako nabo abamaze ebbanga mu makomera nga tebasimbiddwa mu kkooti. Ategeezezza nti Attorney Genera asuubizza okukwatira awamu n’ebitongole ebirala ebyamateeka okulaba nti ekiragiro kya Palamenti […]
Poliisi eyagala ssente obukadde 968 kugula mbwa
Palamenti yategeezeddwa nga Uganda Police Force bweyagula embwa 10 okuva ebweru w’eggwanga mu mwaka 2022/23, nga zazaala era embwa 30 kuzazaalibwa zitendekebwa okukonga olusu. Mu January wa 2023 Poliisi yasaba obuwumbi 4 mu obukadde 968 okugula embwa 750 okugaziya ku kitongole kyaayo ekyembwa okusobola okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.