Abatuuze balwanidde ebigimusa ebibadde birina okubagabirwa

RDC ne Diso e Kayunga baleese alumiriza aba NUP okumusuubizi ssente bagambe nti yabuzibwawo

Olunaku lw’eggulo RDC wa Disitulikiti y’e Kayunga Moses Ddumba ne DISO Barasa Kildon bayise olukiiko lwa Bannamawulire bukubirire nebaleeta omusajja Martin Lukwago 45, gwebagamba nti yazze gyebali nga agamba nti yalabikidde ku lukalala Abakulu mu Kibiina kya National Unity Platform lwebafulumizza mu nnamba 13. RDC Ddumba bweyabadde ayanjula Lukwago eri Bannamawulire yategeezezza nti azze kumalawo […]

Bebawambira abantu bammwe mujje gyendi – Norber Mao

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao awadde abenganda z’abantu abawambibwa okutuukirira bbo nga Gavumenti butereevu bafune okuyambibwa kuba bebali nabo (aba National Unity Platform) tebalina kyebayinza kubayamba!

Mukyala wo wa NUP awakanyizza ebya RDC w’e Kayunga

Mary Namuyanja mukyala w’omuwangizi wa National Unity Platform eyawambibwa mu November 2020 avuddeyo nasaba abobuyinza okulekerawo okuteekawo abantu batamanyi wabula bakkomyeewo bbaawe Martin Lukwago mu bwangu. Ono ategeezezza nti omusajja RDC w’e Kayunga Moses Ddumba ne DISO Barasa Kildon gwebalaze nti ye Martin Lukwago tamumanyi.

Uganda Prisons eyagala ssente kuzimba makomera malala

Elly Muhumuza, Commissioner Planning & Development, owa Uganda Prisons Service ategeezezza akakiiko ka Palamenti nti Eggwanga lyetaaga okuzimbayo amakomera amatonotono (mini-max) agalinga Kitalya 16 okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu makomera. Muhumuza agamba nti amakomera mangi galina abasibe abakubisaamu emirundi 5 abo abalina okusibirwamu. Ono agamba nti okumalawo kino balina okutwala enkola ya Kitalya mu […]

Sipiika alabudde Ababaka obutaswaza Uganda

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alabudde ababaka ba Palamenti abagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gy’Ababaka ba Palamenti ab’obuvanjuba bwa Africa egigenda okubeera mu Ggwanga lya Rwanda okwewala okuswaza eggwanga lyabwe nga basula mu wooteeri eza layisi. Sipiika ategeezezza nti ensako gyebagenda okufuna eya ddoola 720 buli lunaku ensimbi zino zigenda kuba zibamala bulungi nnyo […]

Okudaabiriza omuzigiti gwa Old Kampala kwakumalawo obuwumbi 8.5

Akakiiko ka Palamenti ak’embalirira y’Eggwanga kakizudde nti okuddaabiriza omuzigiti gwa Old Kampala kugenda kumalawo ensimbi obuwumbi 8.5 nga ku zino, obuwumbi 2.7 bwasaasaanyizibwa dda. Kinajjukirwa nti minisitule y’ekikula ky’abantu y’asabye ensimbi obuwumbi 4.7 omwaka guno n’endala 1.5 zibaweebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Ababaka ba Palamenti boolekedde Rwanda mu mizannyo

Enkya ya leero Sipiika wa Palamenti, Anitah Among asimbudde Ababaka ba Palamenti abagenze e Rwanda okwetaba mu mizannyo gy’Ababaka ba Palamenti ab’Amawanga agali mu Buvanjuba bwa Africa. Bw’abadde abasimbula, abeebazizza okwewaayo ne beetaba mu mizannyo gino era n’abasaba okukuuma ekifaananyi kya Uganda ate banyweze n’omwoyo gw’obumu oguli mu Mawanga g’Obuvanjuba bwa Africa.

Emotoka ya Poliisi Gavumenti gyenoonya eri Kajjansi – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mu Palamenti wiiki ewedde, abakulu mu Gavumenti bategeeza nga bwebatamanyi ku motoka ya Uganda Police Force 999/17 eyayogerwako mu katambi akakolebwa aba BBC ku kutta abantu okwaliwo mu November 2020 mu Kampala. Wabeewo agamba Gen. David Muhoozi Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga nti emotoka […]

Bobi Wine ayambalidde Wangadya owa UHRC

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ayanukudde Ssentebe w’akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya ku bigambo byeyayogedde olunaku lw’eggulo mu lukungaana lwa Bannamawulire. Wangadya yalabudde ekibiina kya NUP okukomya okubabanja abantu baabwe kubanga bbo ng’ekitongole tebalina muntu n’omu gwebaali […]