Gavumenti egenda kutunula mu nsonga zabavunaanibwa mu Kkooti zamaggye – LOP Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti enkya yaleero afunye ebbaluwa okuba ewa Attorney General ngeyogera ku nsonga Palamenti gyeyayogeddeko eyabantu babulijjo okuvunaanirwa mu Kkooti y’amaggye ssaako nabo abamaze ebbanga mu makomera nga tebasimbiddwa mu kkooti. Ategeezezza nti Attorney Genera asuubizza okukwatira awamu n’ebitongole ebirala ebyamateeka okulaba nti ekiragiro kya Palamenti […]
Byenabawa byebyenkomeredde temusuubirayo birala – Gen. Muhoozi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi bw’abadde ayanukula okuddamu okukoleddwa akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ku alipoota ekwata ku kiwamba bantu gyeyayanjulira Palamenti gyebuvuddeko, asabye oyo yenna awulira nga si mumativu ne alipoota gyeyayanjula yeyambise amakubo amalala kuba alipoota gyeyawa yeyenkomeredde.
Minisitule y’Ebyobulamu eyagala obuwumbi 2 okulondoola emirimu gyokuzimba eddwaliro ly’e Lubowa!
Minisitule evunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, abakozi n’embeera z’abantu evuddeyo netegeeza nga bweyetaaga ensimbi ezenyongereza obuwumbi bw’ensimbi za Uganda 2 okuddaabirizi Omuzigiti gwa Gadhafi okusangibwa ku Kasozi Kampala Mukadde. Omuzigiti ogwogerwako byebimu ku by’obugagga by’Obusiraamu ebyeteekebwa ku lukalala lw’ebintu ebirina okuboyebwa omusuubuzi Justus Kyahabwa abanja obuwumbi 19. Minisitule y’Ebyobulamu etegeezezza Palamenti nti yetaaga ensimbi ezenyogereza obuwumbi […]
Bbomu enkolerere ebwatuse e Kikubamutwe – Kabalagala
Major Charles Kabona, omwogezi w’ekibinja kua UPDF Infantry ekisooka akakasizza nti wabaddewo okubwatuka kwa bbomu enkolerere mu Mayor Zone, Kikubamutwe-Kabalagala mu Divizoni y’e Makindye ekiro kyajjo. Ono agamba nti waliwo ekisuubirwa okubeera bbomu e Nansana.
Poliisi eri ku muyiggo gwabatujju abatega bbomu mu Kampala
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza ebitongole byebyokwerinda ebyegattira awamu okulwanyisa obutujju okuli CMI, ISO, CT ne CI bwetandise omuyiggo ogwamaanyi ku bagambibwa okubeera abajambula ba ADF abomutawaana ku kigambibwa nti balina omukono mu bulumbaganyi bwa bbomu ekolerere mu bulumbaganyi obuzze bukolebwa mu Kibuga Kampala wamu ne mu Disitulikiti y’e Butambala, […]
Nnaabagereka alambudde ekkuumiro ly’ebisolo erya Bwindi
Maama Nnaabagereka Sylivia Nagginda, ali mu bitundu bye Bwindi eyo alambula ekkuumiro ly’ebisolo erya Bwindi Impenetrable National Park. Ali wamu n’omulwanirizi w’eddembe ly’ebisolo Dr. Gladys Kalema Zikusooka.
Kibirige Edward ye Ssengule 2023
Ow’Engeye Kibirige Edward Musajjalumonde ye Ssengule wa Radio Simba 2023. Endukusa eyasinze ye Kavuma Denis eyeddira Engo. Tusiima abalanga naffe abatutaddemu ssente wamu n’Abawuliriza ba Radio Simba abeyiye e Mukono mu Summer Gardens. Tusiima bwongerwa! Uganda Revenue Authority (URA) KCB Bank Uganda
Munnamawulire wa Simba awangudde engule ya Munnamawulire asinze okusaka amawulire agagasa abantu
Munnamawulire wa Luboggola Simba Martin Amayiko Kigongo olunaku olwaleero awangudde engule ya Munnamawulire asinze okusaka amawulire ga Radio agalina kyegongera ku muntu wabulijjo mu kisaawe ky’obutonde bwensi mu 2023 Population and Development Annual Media Awards. Engule emuweereddwa aba National Population Council. Emboozi zeyakola ku kitundu ky’e Kikandwa (Kasejjere) ngettotola ku ngeri gyebayonoonamu obutonde bwensi, ebyabatuukako […]
Aba Opposition bazzeeyo mu Palamenti
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti bagenda kusisinkana ettuntu lyaleero okusalawo oba baddamu okwetaba mu ntuula za Palamenti oba basigale ku ky’okuzizira. Kino kiddiridde Sipiika, Nnaalongo Anitah Among okulangirira olunaku lw’eggulo nti olwaleero Gavumenti egenda kwanjula alipoota ku bantu abazze babuzibwawo ng’eno yensonga eyali ebafulumizza Palamenti.