Lwaki omwenge togunywera waka – Minisita Opendi

Kkooti egobye okujulira kwa UMSC

Kkooti egobye okujulira kwa Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) kweyabadde etaddeyo ngeyagala okulemesa okutundibwa kw’ebitu by’Obusiraamu olw’ebbanja erisoba mu buwumbi 19. Singa UMSC eremererwa okusasula obusuubuzi, Justus Kyabahwa obuwumbi bwe 19 nga 24-December, 2023 ebintu ebyateekeddwa ku lukalala byakutundibwa, okuli n’ekitebe. Munnamateeka wa Kyabahwa, Meddie Kalule bwati bwategeezezza Bannamawulire.

Abakulu b’essomero e Lwengo bakwatiddwa

Abasomesa b’essomero lya Coloh Children’s Foundation erisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo bakwatiddwa nebaggalirwa olw’ebigambibwa nti baalemera omuyizi Ojuma Joel ow’emyaka omwenda nebamukuumira ku ssomero olw’obutamalaayo bisale bya ssomero. Ebyembi omuyizi ono yasangiddwa mu kisulo nga yetugidde mu kisulo ekiggya abazadde be mu mbeera nga bagamba nti omwana waabwe yandiba nga yattibwa buttibwa.

Rev. Fr. Mudduse aziikiddwa olwaleero

Okuziika Rev. Fr. Lawrence Mudduse e Mityana. Ekitambiro ky’emmisa eky’okusabira omugenzi kigenda mu maaso mu Mityana Cathedral Parish, kikulembeddwamu Omusumba we Ssaza ly’e Mityana Bishop Anthony Zziwa. Katikkiro Charles Peter Mayiga yakulembeddemu Ab’ekitiibwa n’Abakungu okuva mu Gavumenti ya Kabaka okwetaba mu kuwerekera omugenzi.

Aboluganda bagaana okwogerako gyetuli mukunoonyereza – Minisita Muhoozi

Minisita omubeezi ow’ensonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi; “Okunoonyereza kwakaluba olwokuba wabulawo enkolagana wakati wa b’oluganda nabanoonyereza wamu ne fayiro z’emisango okubula. Ab’oluganda basalawo kukolagana nabitongole byabwannakyewa. Ebiwandiiko bya NIRA byakakasiddwa abantu 9 ku 18 ababuzibwawo. Okubuzibwawo kwa; Kibalama, Kajumba ne Kisembo tewali muntu alumiriza kukulaba.”

Alipoota eno mugiwe Bannayuganda bamanye obulimba bwa NUP – Minisita Muhoozi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi ategeezezza Palamenti nti okunoonyereza ku misango 30 egyawabibwa aba National Unity Platform – NUP mu Uganda Human Rights Commission – UHRC era okunoonyereza kulaga nti waliwo ebibuuzo bingi ku kwemulugunya kwa Opposition. Ono agama nti abawagizi abo aboogerwako tebakolaganye bulungi nabanoonyereza oba obujulizi bwabwe […]

Lwaki temwawandiika ennamba zemotoka ezo – Minisita Muhoozi

Gen David Muhoozi; “Ensonga zokubuzibwawo kwabantu abasinga obungi tekwaloopebwa ku Poliisi. Ebigambibwa nti Ddamulira John, Kirya Peter, Wangolo Denis, Ssesazi Isima, Mubiru Hassan, Baguma Joseph alias Ssemujju Joseph, ne Zzimula Dennis alias Boyi tewali yavaayo kuggulawo musango. Kiri mu mateeka nti oli okukakasibwa nti yabuze, walina okuggulwawo omusango. Kino kirina kukolebwa ku Poliisi ekitakolebwa era […]

Tukyanoonyereza ku motoka ya Poliisi 17 eyatomera abantu – Minisita Muhoozi

Minisita Gen. David Muhoozi avuddeyo nategeeza Palamenti nga Gavumenti bwekyanoonyereza ku kuwandiisibwa kw’emotoka ya Uganda Police Force 17 eyakwatibwa ku katambi ngetomera abantu nebatta mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020 mu Kampala.

NUP ekyokuwamba abantu ekikozesa kutwala bantu baayo ebweru – Minista Muhoozi

Gavumenti evuddeyo netegeeza nga ekibiina kya National Unity Platform NUP bwekirina campaign yokwonoona erinnya lya Gavumenti ngeyita mu kiwambabantu, Minisita Muhoozi ategeezezza kino ab’oludda oluvuganya Gavumenti bakikozesa okufuna visa bagende ebweru. Muhoozi yewuunyizza nti lwaki tebakwata nnamba za motors ezawamba abantu. Muhoozi era ategeezezza nti byonna ebikolebwa byabulimba wabula ekyenaku ensi gyebalaga zikiriza obulimba buno […]

Sipiika alagidde Minisita Muhwezi okuvaayo ku nsonga zeddembe ly’obuntu

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alagidde Minisita Gen Jim Katugugu Muhwezi okuvaayo mu bunnambiro n’ekiwandiiko ekikwata ku nsonga y’okulinyirira eddembe lyobuntu eyaleetebwa ab’oludda oluvuganya Gavuementi oluvannyuma lwobudde obwaweebwa Gavumenti okwanukula okuggwako.