IGP asiimye musajja we PC Tusiime Abdullah
Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky’ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda. Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Bannamawulire bagaaniddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye
Bannamawulire bagaaniddwa okuyingira Kkooti ya Amaggye e Makindye, Bannakibiina kya National Unity Platform gyebatwaliddwa okuvunaanibwa emisango emiggya oluvannyuma lwokukiriza emisango. Bano kuliko; Olivia Lutaaya, Sanya Muhuydin Kakooza n’abalala 17 abakiriza emisango nebasaba ekisonyiwo kya Pulezidenti oluvannyuma lwokumala emyaka 4 mu kkomera nga tebavunaanibwa. Bano basooka nebegaana emisango gino wabula oluvannyuma nebekyuusa. #ffemmwemmweffe
Kisaka ne banne batwaliddwa mu Kkooti
Abakungu okuva mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala abagobwa omukulembeze w’Eggwanga gyebuvuddeko okuli eyali Executive Director Dorothy Kisaka, Deputy ED Eng. Edward Luyimbazi ne Director of Public Health Dr. Daniel Okello batwaliddwa mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Kasangati okuvunaanibwa omusango gw’obulagajjavu ekyaviirako abantu 30 okufiira mu njega eyaggwa e Kiteezi. Bano bakwatibwa ku lunaku olwokusatu bwebaali […]
Ssaabasajja Kabaka asiimye obuweereza bwa Bishop Ssekadde
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bw’Omugenzi Bp. Ssekadde Nnyinimu ategeezeza nti mu kiseera omugenzi we yabeerera omulabirizi w’e Namirembe yakolagananga bulungi n’Obwakabaka wamu ne Nnamulondo era abadde muntu wa kisa, omwetowaze ng’awa buli muntu ekitiibwa era waakusaalirwa nnyo. Asaasidde nnyo Nnamwandu Allen Ssekadde, bamulekwa n’olukiiko lw’Abalabirizi olw’okuviibwako omuntu waabwe. Obubaka bw’Omuteregga busomeddwa […]
Poliisi e Kiboga ekutte abadde yenyigira mu kuwamba abaana
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettunduttundu lya Wamala Racheal Kawala avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kiboga bweyakutte Bukenya Rashid, 25 ngasoma busawo ku kigambibwa nti ono abadde yenyigira mu kuwamba abantu mu Disitulikiti y’e Kiboga. Kigambibwa nti ono bwebamukunyizza yakirizza okwenyigira mu kuwamba abaana 2 okuli; eyawambibwa nga 5 October ow’emyaka 4 nebasaba emitwalo 30 […]
Matia tunnyonyole, aba URA batuuka batya okweyongeza akasiimo – Sipiika
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among avuddeyo nateeka Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija ku nninga okuvaayo mu bunnambiro annyonyole Palamenti ku bigambibwa nti abakozi mu kitongole ekiwooza ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) begemulira akasiimo ka nsimbi obuwumbi 14 mu obukadde 600 so nga bano baalina kugabana ensimbi obuwumbi 11 mu obukadde 638 nga akasiimo […]
Abavubuka abatalina mirimu banditufuukira ekizibu essaawa yonna – Kasaija
Minisita w’Ebyansimbi Matia Kasaija avuddeyo nategeeza nti Uganda eyolekedde ekizibu ekitagambika ekyabavubuka obutaba na mirimu, ono ategeezezza nti abavuzi ba booda booda abawerera ddala emitwalo 50 bayivu nga balina ne ddiguli wabula oluvannyuma lw’emirimu okubabula basalawo kusaabaza bantu okufuna ekyokulya. Ono ategeezezza nti bwewatabaawo kikolebwa mu bwangu abavubuka bano bandifuukira abakadde ekizibu. Kasaija ategeezezza nga […]
Abakungu ba KCCA 3 bagaliddwa
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nakakasa nga abakungu b’ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA abafumuulwa okuli; Dorothy Kisaka, David Luyimbazi, ne Dr. Daniel Okello bebakwatiddwa era nabatwalibwa mu buduukulu bwa Poliisi obwenjawulo okuli Kira ne Natete okutuusa olunaku olw’enkya bwebanasimbibwa mu Kkooti bavunaanibwe emisango egyenjawulo. Bya Kamali […]
Nnaalongo Nabirye eyagobwa mutabani we ku ttaka limudiziddwa
Nammwandu NnaalongoYokosabeti Nabirye 93, omutuuze ku Kyalo Busowobi Bulyangada mu Gombolola y’e Nakigo olunaku olwaleero afunye akamwenyumwenyu Abekitongole kya Redeem International bwebamuyambyeeko okuddizibwa ku ttaka lyabba Omugenzi Sousipateero Kaziba, mutabani w’omugenzi ngategeerekeseeko erya Kaziba kweyali amugobye ngamugamba adde ewaabwe kuba bba yaffa dda nga talina kyakola ku ttaka lyabwe. Bya Willy Basoga Kadama #ffemmwemmweffe