Palamenti egobye ekiteeso ekyabadde kireeteddwa Gavumenti ngeyagala ekirizi omusuubuzi Donati Kananura asonyiyibwe omusolo buwumbi 2,696,768,814 nga bagamba nti ono yalwaala sukaali ssaako prostate nga bino byamuviirako okulekerawo okukola nga takyasobola kusasula misolo gino.
Amos Kankunda, Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’ensimbi yategeezezza Palamenti nti Minisitule y’ebyensimbi yasaba Kananura asonyiyibwe omusolo gwa VAT gwa nsimbi 1,285,685,354 ne Rental Income Tax gwa nsimbi 1,141,083,460 wabula oluvannyuma lwokulemererwa okumatiza akakiiko, Gavumenti ekiteeso yakivuddeko.