Palamenti etadde Gavumenti ku nninga ku kyuma kya Kkansa .

Palamenti ng’ekubirizibwa Sipiika Rebecca Kadaga etadde Gavumenti ku nninga ku kufa kw’ekyuma ekikalirira abalwadde ba kkansa ekiri e Mulago mu ddwaliro ly’abalwadde ba Kkansa .

Ensonga ereeteddwa omubaka akiikirira obukiika ddyo bwa  Bufumbira Eddie Kwizera nga agamba nti kati kyongedde okufuukira ddala ekizibu abasawo okujjanjaba abalwadde ba Kkansa . Kwizera ayongera nti kikwasa ensonyi okuba nga n’ekyuma ekipya ekyaweebwa Minisitule y’ebyokwerinda tekirina  wekiteekebwa era naasaba Gavumenti ennyonnyole bannansi lwaki ebyuma tebirina webiteekebwa kutandika kujjanjaba balwadde ba Kkansa .

Ababaka ababadde batasalikako musale nga bakulembeddwa omubaka omukyala owa  Disitulikiti ye Serere Alice Alaso tebabadde bamativu ku ngeri Minisita omubeezi owa guno naguli  Dr. Chris Baryomunsi gy’annyonyoddemu engeri Kkansa gy’akwatamu wamu n’okusaasaana .

Wabula ababaka beetaaga okumanya ddi ekyuma kino lwekinaatereezebwa , gyekiri ate n’engeri bannayuganda gyebanaafunamu obujjanjabi ku kirwadde kino mu ddwaliro ly’abalwadde ba Kkansa e Mulago .

Leave a Reply