Palamenti eyimirizza emirimu gyayo mbagirawo okutuusa nga Gavumenti evuddeyo n’ennyonnyola ku kuttibwa kw’abakyala okukudde ejjembe mu ggwanga.
Ekiteeso ekiyimiriza emirimu gya Palamenti kireeteddwa omubaka w’essaza ly’e Aru, Odonga Otto nekiwagirwa omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Wakiso era nga ye Minisita Omubeezi ow’ebyenjigiriza bya Pulayimale Rose Mary Sseninde.
Ababaka babadde baakadda okuva mu luwummula era nga olwaleero lwelubadde olutuula lwayo olusooka nga bakoomyewo, era wano omumyuka wa Sipiika, Jacob Oulanya n’ategeeza nti Palamenti enaddamu okutuula singa Kkilaaka anaabategeezezza nti Gavumenti nneeteefuteefu okunnyonnyola ku nsonga eno !