Pasita bamukutte asera ekiro

Endiga ezisabira mu kkanisa ya The God is Able esumbibwa Kato Kayiwa ku kyalo Bulamu e Kasangati zaabuze okuyingira ettaka lizimire bwe zaasanze omusumba waazo nga yeeyambudde engoye ekiro ekyakeesezza Mmande.
Omusumba agoba ebyokoola ate ku luno byamwefuulidde ne bimulinnya, ekyavuddeko abagoberezi okutya n’okutenda sitaani bw’alina effujjo.
Ezekiel Kibudde nga mutuuze ku Bulamu yategeezezza nti, abavubuka abaabadde bava mu ndongo be baasanze omusumba Kato nga yeeekulukuunya ku kikondo ky’amasannyalaze ekiriraanya ennyumba ya Kibudde ku ssaawa nga 9:00 ogw’ekiro.
Kibudde yagasseeko nti, yaduuse mu nnyumba okumufunira engoye ayambale wabula mu kiseera ekyo Kayiwa yabadde agudde wansi nga tamanyi biri ku nsi n’amaanyi nga gamuweddemu era waliwo omukyala eyazze ne kaleesu ke baamuzingiriddeko.
Mu kiseera poliisi we yatuukidde mu maka ga Kayiwa, mukazi we atateegerekese mannya yabadde yeekwese, era bwe yabadde adduka yalagidde abagoberezi abaabaddewo okwekolamu omulimu batwale omusumba mu ddwaaliro.
Abatuuze bategeezezza nti, guno si gwe mulundi ogusoose okusanga Paasita Kayiwa nga yeekeja. Poliisi yawadde amagezi abagoberezi n’abooluganda lwa Kayiwa okumutwalako e Butabika kuba kirabika alina obuzibu ku mutwe.
Wabula abagoberezi abaabaddewo baawuliddwa nga bagamba nti, Yesu akola era bagenda kumusabira atereere.

Leave a Reply