‘patrol ya poliisi eyagoba ssebulime yatuwa amawulire amafu’ – enanga

Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Ronald Ssebulime eyakubwa Poliisi amasasi ku lunaku lwa Sunday nga kiteeberezebwa nti yali agoberera emotoka y’Omubeezi wa Minisita owa Tekinologiya nti yattibwa mu bukyaamu.
Enanga ategeezezza Bannamawulire nti bazudde ensawo nga erimu eby’okulya wamu n’ebyokunywa ekitegeeza nti yali agenda kukyalira baana ku ssomero. Ayongeddeko nti Patrol ya Poliisi eyagoba Ssebulime yabawa amawulire amafu.

Leave a Reply