Minisita omubeezi owettaka avunaanyizibwa ku nsonga zamayumba Persis Namuganza asekeredde ba Kkaminsona ba Palamenti olw’okukemererwa okuyimirira ku bigambo byabwe eby’okulwanirira abantu, ne batuuka okwegabanya ensimbi y’omuwi w’omusolo bwebeewa akasiimo ngate be bamu ku baakulemberamu enteekateeka y’okumuggyamu obwesiga ku kifo ky’obwa minisita omwaka oguwedde.
Bino Minisita Namuganza abyogedde bwabadde assa omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu ba Kkaminsona ba Palamenti abana(4) okuli; Solomon Silwany @National Resistance Movement – NRM, Prossy Akampurira(NRM), Afoyochan Easter (NRM), ne Mathias Mpuuga Nsamba(NUP) nga balangibwa okwegabanya ensimbi ezisoba mu kawumbi kalamba ne kitundu nga akasiimo.
Minisita Namuganza ategeezezza nga ye bweyagibwamu obwesige ku nsonga ezitaalimu na kulya nsimbi ya muwi wa musolo nga n’olwensonga eyo tayinza butassa mukono mu kiwandiiko kigoba bali banguzi.
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Joel Ssennyonyi agamba akasiimo tekandibadde kabi wabula kyandisoose kuleetebwa mu Palamenti nekikubaganyizibwako ebirowoozo, wabula obutaleetebwa kikifuula okuba obuli bwenguzi era naye ataddeko omukono okuggya obwesige mu ba Kkaminsona.
Eyaliko Kkaminsona mu Palamenti, Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Zzaake Francis ye akubye gudiikudde era asanyukidde entekateeka eno eyokugoba ba Kkaminsona ba Palamenti abeenyigira mu kulya enguzi okuyita mu nkola ey’okubaggyamu obwesige era naye yeegasse ku babaka abataddeko omukono.