Nga 25-Dec-2016 Poliisi ya Yuganda yatongoza Piki Piki ez’emipiira esatu nga zino zaali zakutambuza abasirikale ba Poliisi 3 nga 2 kubbo balina okubeera n’emmundu era nga kino kyali kirabo eri Bannayuganda ekyamazaalibwa ga Yesu Kulisito. Eyali adduumira Poliisi mu kadde ako Gen. Kale Kayihura bweyali atongoza Piki piki zino yavaayo ku mukutu gwa Tweeter nategeeza nga bweyali ataddewo Piki piki zino okusobozesa Bannayuganda okunnyumirwa obulungi ebiseera byebikujjuko.
Ekigendererwa kya Piki Piki zino kwali kwongera ku basirikale ba Poliisi abalawuna ekibuga. Eyali omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Emilian Kayima yavaayo nawagira Piki piki zino nti zaali ziguliddwa okwanguyiza ab’ebyikwerinda okutuusa ku Bannayuganda obukuumi bwebetaaga. Ono era yategeeza nti zino zaali zetaaga ssente ntono nnyo okuzibezaawo bwozigeraageranya n’emotoka za Poliisi ekika kya Toyota Land Cruiser 70. Nga agamba nti Patrol zino zinywa amafuta mangi era nga tezisobola kutuuka mubitundu byonna naddala eby’omugoteko.
Piki piki zino zaali zakukola mu bitundu bya Kampala n’emiriraano nga; Northern bypass, Muyenga, Kabalagala, Jinja Road, Entebbe road, Kajjansi, Kawuku, ne Nakawa.
Wabula Piki piki zino tewali yali azirabyeeko mu Kampala n’emiriraano nga zikola omulimu ogwazireesa. Okusinziira ku musirikale wa Poliisi omu, agamba nti Piki piki zino zateekebwa e Namanve police mechanical workshop era nga zimazeewo ebbanga eriwerako.
Piki piki 5 zokka ku zino zezirabwako ku kitebe kya Poliisi e Naguru nga zikozesebwa. Mukwogerako n’omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga tategeezezza nti obukulembeze bwa Poliisi obupya bulina enteekateeka ey’amaanyi okukozesa Piki piki zino.
Ono agamba nti mu biseera ebiyise wabaddewo okwonoona ebintu bya Poliisi nit naye ku luno enteekateeka eriwa bagenda kuba nga basobola bulungi okulondoola buli Piki Piki weeri naki kyekola. Yayongeddeko nti abagenda okuzikozesa bagenda kusooka kutwalibwa batendekebwe bulungi ziryoke zibaweebwe.