Poliisi e Tororo eriko emmundu bbiri ne bbomu ssatu zeezudde mu kaabuyonjo ya Eklezia ku kyalo Nyangoro ekisangibwa mu bukiika ddyo bw’ekibuga Tororo.
Ayogerera Police mu bitundu by’e Bukedi Sowali Kamuliya, ategeezeezza Luboggola Simba nti emmundu zino zirabiddwa abasajja ababadde banuuna kazambi mu kaabuyonjo nga baziguddeko wakati mu kukakkalabya omulimu gwabwe guno.
Police egamba nti emmundu zino ne bbomu bikadde nnyo ekyoleka nti zaaliba nga zaasuulibwayo dda eyo mu myaka gy’ekinaana.