Police e Mubende egudde mu kabondo k’ababbi ba pikipiki ababadde bazibba nebazitemaatema ssipeeya.
Aduumira Police e Mubende , Martin Okoyo ategeezezza nti obubbi buno bano babadde babukolera Kangulumira mu South Division mu Munisipaali y’e Mubende
Annyonnyodde nti okukwata bano bayambiddwako abavuzi ba boda boda ababatemezzaako nebabatwala bano gye basumululira pikipiki era nga pikipiki ebakwasiza ya kika kya Bajaji nnamba UEO 780C gye babba ku Ssemakula Ronald gye buvuddeko.
Martin Okoyo wano w’ansinzidde n’alabula abavuzi ba boda boda e Mubende okukomya okupangisa abantu pikipiki bebatamanyi kubanga bano bekobaana n’ababbi nebagenda batema pikipiki zaabwe ssipeeya olwo nebadda nebabategeeza nga bwe bazibabbyeko!!