Police ekoze ekikwekweto kya Pikipiki, bannyinizo batadddeko enjabala

Police y'ebidduka mu kitundu kya Wamala eriko ekikwekweto kyekoze mu Disitulikiiti y'e Mityana okukkakkana nga  eyodde Pikipiki eziwerako ezitalina bisaanyizo bizikkiriza kutambula ku luguudo era nga bangi ku bannyinizo balabiddwako nga bateekakako kakokola tondeka nnyuma .

Ekikwekweto kino kikulembeddwamu akulira Police y'ebidduka mu kitundu ekya Wamala Komakechi Richard nga agamba nti okusinziira ku mateeka agafuga ebidduka , omuntu yenna okuvuga Pikipiki ateekeddwa okubeera n'ebisaanyizo omuli; Yinsuwa, Ebikoofiira bi katamu, "Third Party", Driving Permit , ennamba ya Pikipiki n'ebirala.

Ono agasseeko nti n'abavuga Pikipiki ez'obwannannyini naye nga tebalina bisaanyizo bino nabo Ppotolo eno tebatalizza kubanga amateeka agafuga ebidduka ku nguudo tegataliza.

Leave a Reply