Police mu Disitulikiti y'e Kibuku eriko omuvubuka wa myaka 24 gwegombyemu obwala lwa kukkira mwana ow'obuwala ow'emyaka munaana n'amugogombola obumuli.
Kamulya Soali, Omwogezi wa Police mu bitundu by'e Bukedi agamba nti Omuvubuka eyakabasanyizza omwana ye Omutu Andrew nga mutuuze w'e Kagweri era mu ggombolola y'e Kagweri mu Disitulikiti y'e Kibuku.
Soali agamba nti maama w'omwana ono abadde aliko ssente z'abanja omuvubuka ono era bwatyo omuvubuka n'ayita omwana ono azizone kumbe agenda okumutunuza mu mbuga ya Sitaani era n'asangiba lubona.