Police enywezezza ebyokwerinda mu bitundu mw’esuubira akavuyo .

Ayogerera Police -  Fred Enanga
Ayogerera Police – Fred Enanga

Police egamba nti waliwo ebitundu byeyeeraliikirira era mwesinga okusuubira okubaamu akavuyo mu kulonda mu kalulu akabindabinda akabuzaayo essaawa obusaawa . enywezezza ebyokwerinda mu bitundu ebyo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ebiyinza okuvaako kalumanywera mu kulonda ne nga okulonda kuwedde okwa 18 ogwokubiri .

Ayogerera Police Fred Enanga agamba nti bali ku muyiggo gwa kibinja ky’abantu abagambibwa okusuula bi kiro kitwala omunaku mu Kampala nga birimu obubaka obutiisatiisa . Ayongerako nti eby’okwerinda biri gguluggulu naddala mu Kampala  n’emiriraano .

Enanga ayongera okukikkaatiriza nti Police etaddewo ab’eyokwerida abali mu 40.000 abayambeko okukuuma obutebenkevu mu biseera by’okulonda.

Leave a Reply