Ssaabaduumizi wa Police General Kale Kayihura alabudde ne ssekulabula yenna abo bonna abeetegese okuleeta obuvuyo mu kalulu ka akamyufu ka NRM akagenda okukubwa enkya.
Kayihura agamba nti oyo yenna anaaleeta akavuyo waakukolebwako ng’obuyinza bwebulagira era anaaba tamatidde nga yeemulugunya ku kalulu ayite mu mitendera emituufu.
Bino yabyogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire akawungeezi akayise ku kitebe kya police mu Kampala.
Enkya ku bbalaza kwekukuba akalulu ka Kamyufu ka NRM okulonda ababaka ba Palamenti, ba Ssentebe ba zi Disitulikiti ne ba Meeya.