Police esabye amakampuni ga Bus okuwa baddereeva ekiseera ekimala okuwummula ate n’ebalabula ku kuvuga endiiba kisobozese okukendeeza obubenje obukudde ejjembe nga n’akamu ku bwo kabaddewo ku luggudo oluva e Kampala okudda e Kampala ekiro ekikeesezza leero .
Kino kijjidde mu kiseerea nga waguddewo akabenje ddekabusa abantu mwenda mwebakakasiddwa nga bafiiriddewo mbulaga ate abalala 16 bakomye ku mugo gwa ntaana nga kati bapookya , akagudde mu bitundu by’e Kamutuuza ng’oyolekera ekibuga Masaka .
Akabenje kano kabaddemu Bus ya Kampuni ya Highway Coach ebadde eva e Kampala nga egenda Kanungu , Bus eno kigambibwa nti eyingiridde lukululana ebadde ku babbali g’oluguudo .
Ye aduumira Police y’ebidduka mu Disitulikiti y’e Masaka Hassana Ssekalema agamba nti obubenje nga buno busobola okwewalika singa abagoba bassaayo omwoyo ssaako n’okwewala okuvuga endiima .
Wabula abamu ku bakaawonawo banenya omugoba wa Bus nti yabadde avugisa kimama okuva e Kampala .