Police enkya ya leero ekedde kulwanagana n’abasuubuzi boomu katale k’e Nateete nga beekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe olw’eteekateeka ewomeddwamu omutwe ab’ekitongole kya KCCA okutunda akatale kaabwe kaguzibwe Kkampuni ey’obwannannyini.
Abantu bano bakutte eby’amaguzi byabwe nebatanula okubitundira mu kkubo ekiwalirizza Police okujja okubasindiikiriza era n’ewunzika ng’ebakubyemu omukka ogubalagala okusobola okubakkakkanya.
Bo abasuubuzi bagamba nti ab’ekitongole kya KCCA nga bakulembeddwamu nankulu wa Kampala Jennipher Musisi bagamba nti akatale kano tebakamanyi, ate bbo abasuubuzi bagamba nti oba tebakamanyi lwaki bazze babasoloozaamu ensimbi.
Akatale k’e Nateete kasangibwa mu ggombolola y’e Lubaga mu Disitulikiti y’e Kampala.