Ekitongole kya Police kiri mu katu olw’ebbula ly’amafuta okubalukawo nga bino bikakasiddwa omwogezi wa Police Andrew Fellix Kaweesi .
Kaweesi avuddeyo n’ategeeza nti waliwo ebbula ly’amafuta oluvannyuma lw’amasudiro g’amafuta okuli Total ne Shell okuyimiriza okubawa amafuta olw’ebbanja okuba nga lisusse ogw’obulamuzi .
Police eteeberezebwa okuba nga ekozesa liita z’amafuta obukadde 29.800.000 ez’amafuta aga Diesel awamu ne Petrol buli mwaka, era nga gano gakozesebwa mu mirimu gya Police egy’enjawulo awamu n’ebikwekweto nga gaweramu ensimbi ezisoba mu bukadde kikumi .
Ebbula ly’amafuta likosezza nnyo emirimu gya Police era nga wetwogerera kati Police ekaluubirizibwa okukima ba Ofiisa baayo okubaggya mu bitundu gyebasula okubatwala mu bitundu eby’enjawulo gyebakolera mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyeewo .