Police e Buwenge mu Jinja eriko abantu bana nga bonna ba maka gamu abasimattuse amagombe beetaasizza ku batuuze ababadde bataamye obugo okubatta nga babalanga okuleeta amayembe ku kyalo negatanula okutigommya abatuuze.
Bino bibadde ku kyalo Muwangi ekisangibwa mu Ggombolola y'e Buwenge mu Disitulikiti y'e Jinja nga abatuuze babadde bakkakkanye ku bantu bano nebabakuba emigoba nte, okusaanyaawo amaka gaabwe ssaako n'ennimiro era Police egenze okubataasa nga katono babakkirize ekalannamo.
Wabula omusasi waffe oluuyi olwo bw'ayogeddeko n'omu ku bakubiddwa n'ategeeza nti ebinoogerwako ssi bituufu n'akatono.