Police etandika ebikujjuko byayo enkya

Ekitongole ekya Police kitegeezezza nti kigenda kukuza wiiki ya Police okutandika n’olunaku olw’enkya nga ennaku z’omwezi 27 omwezi guno ogwa Mutunda, nga bagenda kwenyigira mu bikujjuko eby’enjawulo ng’omu ku kaweefube w’okwongera okutumbuka enkolagana ennungi wakati wa Police n’omuntu wa bulujjo .

Police egamba nti ebikujjuko bino bigenda kutandika na kutema vvuunike ku mayumba agasoba mu 1000 agagenda okuzimbibwa ku nkambi ya Police e Nagulu ,ng’omu ku kaweefube ow’otumbula ensula ya ba Ofiisa ba Police. Mu bimu ku bintu ebigenda okuba nga bikolebwa , bagenda kwenyigira mu Bulungibwansi nga bayonja obutale, amalwaliro n’ebirala bingi .

Bw’abadde ayogerako ne Bannamawulire enkya ya leero  ku kitebe kya Police e Nagulu mu Kampala, omwogezi wa Police Andrew Fellix Kaweesi agamba nti bagenda kutunuulira nnyo  abapoliisi aba wansi , bagenda kugendako mu bitundu ebya wansi naddala eby’omugoteko era nga ku mulundi guno bagenda kutandikira Kitebi ekisangibwa mu muluka gw’e Kabowa .

Leave a Reply