Police etandise okunonyeereza ku kyavuddeko akabenje ddekabusa akaagudde e Kampiringisa – Buwama ku luguudo lw’e Masaka akawungeezi akayise omwafiiridde abantu abawera 19 n’abalala abawerako nebabuukawo n’ebisago ebyamaanyi .
Ng’ayogerako ne Radio Simba , Polly Namaye amyuka omwogezi wa Police mu ggwanga agamba nti mu baafudde , bataano ku bo bakyala , 13 basajja ate n’omubuka nga emirambo gyabwe giri mu ggwanika e Mulago gikyekebejjebwa .
Ayongerako nti wadde nga balina amawulire nti ddereeva wa mmotoka ya buyonjo kika kya NOAH yabadde ayisa emmotoka nnya omulundi gumu n’ayingirira lukululana , bakyetaagira ddala okwongera okunoonyereza okumanyira ddala ekituufu ekyavuddeko akabenje .
Wabula Namaye atutegeezeza nti basobodde okutegeera ebikwata ku baafudde babiri bokka naye eby’abalala tebinnamanyika .