Police y’e Kavule ekisangibwa mu ggombolola y’e Gombe mu Disitulikiti y’e Wakiso eri ku muyiggo gwa kansala amanyiddwa nga Kaggwa Eria agambibwa okukabasanya omwana wa myaka 14 nga abadde asoma kibiina kya mukaaga.
Okusinziira ku mawulire agatuweereddwa omukulu w’essomero lya Kavule Junior School e Busakya omwana ono mwabadde asomera, Kaddu Peter, agamba nti omwana Kaggwa yamufunyisa n’olubuto era n’amubuzaawo okumala akabanga bwatyo n’alemererwa n’okukola ebigezo ebimalako olusoma olusooka kubanga yalina erya Mugema .
Radio Simba esobodde okutuuka ku ssomero lya Kavule Junior School wamu n’ewa Kansala Kaggwa naye tasobodde kukubikako kimunye.