Police mu Kampala olwaleero etandise okwogereganya n’ebiwayi by’abagoba ba Bodaboda abatalima kambugu nga buli kiwayi kigamba nti kyekinnannyini buyinza.
Ku Lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde waaliwo okulwanagana wakati w’ekiwayi kya Century Bodaboda awamu ne Bodaboda 2010 e Wakaliga – Nateete mu Kampala era okukkakkana nga beetuusizzaako ebisago awamu n’okwonoona Pikipiki.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya Police e Naggulu, Omwogezi wa Police mu ggwanga, Asan Kasingye avumiridde eky’okulwanagana era n’ategeeza nga bwebayise ebiwayi bino byombi bamalewo endooliito.
Asan Kasingye agamba nti abantu bana bamaze okugombebwamu obwala agiyambeko mu kunoonyereza