Police mu Kampala eyisizza ebiragiro byokunguudo ebinaagobererwa nga abantu bagenda okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo olunaku olw’okubaayo nga 03 ogwomukaaga olubaayo buli mwaka.
Ku lunaku luno abantu abawerako beekuluumulula okuva e bule n’ebweya nga abalala bava mu mawanga amalala omuli Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, DR Congo n’awalala.
Bino byogeddwa aduumira Police y’ebidduka mu Kampala awamu n’emiriraano Norman Musinga bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku CPS mu Kampala.
“Emmotoka zaffe ez’obwannannyini, Takisi ne Bodaboda tezikkirizibwa kuyisa makubo gaffe wetugenda kugasalirako nga ku Kireka Trading center, Bweyogerere Trading Center, Kyaliwajjala Trading Center, Kira Town Council Roundabout, Naalya Roundabout. Temukola ensobi nemuyisa amakubo ago”.