Police mu Kampala egombyemu obwala abantu basatu nga mulimu n’omupoliisi ku bubbi bwa Bodaboda ne pikipiki obukudde ejjembe mu Kampala n’emiriraano.
Emilian Kayima, omwogezi w’ekitongole kya Police agambye nti omuserikale James Ogwal abadde akolera ku Police y’e Kabalagala nga y’omu ku baakwatiddwa n’aggalirwa ku Police yooku Mawanda, ate oluvannyuma yeyimbyemu ogwa Kabugu n’akkirira e Kalannamo
Kayima era ategeezezza bannamawulire nti bano abaagombeddwamu obwala bakkirizza nti Pikipiki babadde bazibba nebazitunda mu bitundu by’e Amurata, Dokolo ne mu zi Disitulikiti endala.