Police e Mubende ekoze ekikwekweto mweyooledde abasaswo b’ekinnansi abafere nga n’abamu ku bo beyita ba Nabbi.
Abasawo b’ekinnasinsi Police ebalese bafumbya miyagi bw’ebayoddemu abawera nga bafere , bagulika abantu nti bagenda kubawa obugagga ate oluvannyuma nebababba .
Omu ku bo y’abadde yeyita Nabbi John eyagulika omusajja n’amuggyako obukadde munaana (8) ate n’atumuwa bugagga bw’ayagala .
Aduumira Police e Mubende ASP Alex Wabwire akakasizza bino n’okukwatibwa kwabano era n’asaba abantu bave mu kwesiga endagu tezisobola kubawa bugagga wabula buva eri Katonda.