Abasawo b’ekinnansi abafere 15 n,abakulembeze baabwe bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa Police e Mubende .
Okusinziira ku Ssentebe w’abasawo Byoto Ismail abeegattira mu kibiina kya Intergrated Forum bakoze ekikwekweto kino oluvannyuma lw’okukizuula nti waliwo abasawo b’ekinnansi aberimbika mu mulimu gwabwe ekintu ekivumaganya omulimu gwabwe guno .
Byoto annyonnyodde nti abantu bangi bazze battibwa mu Disitulikiti ye Mubende ng’abantu bagenda mu maaaso n’okunenya abasawo b’ekinnansi songa abafere bangi ddala abatamanyi mulimu guno abagwerimbiseemu nga bakola ebikolobero bino ne badduka mu kitundu.
Ye Kawanga John nga yaakulira eby’okwerinda mu kibiina kya Intergrated Forum ategeezezzza nti ekikwekweto kino kigenda kutwala omwezi mulamba era bakyagenda mu maaso n’okufeffetta aberimbika mu mulimu guno .
Bo abasawo b’ekinnansi abafere bakwatiddwa batwaliddwa ku Police e Mubende .