Eby’okwerida byongedde okunywezebwa mu Disitulikiti ye Amuru mu mambuka ga Yuganda okumalawo okulwanagana kw’amawanga okwabalukawo mu sabbiiti ewedde .
Kino kiddiridde abantu abamu okufiira mu bulumbaganyi bw’Abacholi ku bantu abaasengayo nga baava m masekkkati ga Yuganda . Disitulikiti ye Amuru eno eriraanye olutindo lwa Karuma ng’oyolekera amambuka ga Yuganda , era wano abantu bangi baava mu bitundu bya Buganda ne beesoloza ebibira mu Disitulikiti eno okutema amanda .
Wabula ku lwokuna lwa sabbiiti ewedde Abacholi nga babagalidde amajambiya, embazzi, obuso n’ebissi ebirala baakola olulumba ku basenze nga baagala baamuke ettaka lyabwe .
Obulumbaganyi buno bwakolebwa oluvannyuma lwa omu ku batuuze okubbibwako Pikipikiye nga bbo bagamba nti obubbi buno bwandiba nga bwakoleddwa basenze .
Omu ku beerabidde n’agage ategeezezza Radio Simba nti abamu ku bakulemebeze b’ekitundu kino be bakuma omuliro mu bantu okubagobaganya .
Wabula Radio Simba egezezzaako okwogerako n’ayogerera Police mu bitundu bye Aswa Jimmy Okema ku nsonga zino , kaweefube n’agwa butaka nga takwata masimu .