Aduumira Police mu maserengeta ga Kampala Siraje Bakaleke agamba nti bamaze okuwa ebiragiro eri abaduumira Police mu bitundu ebyenjawulo – bayite ba DPC okuwa obukuumi abantu bonna abava mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo abagenda ku mikolo gy’okulayiza Pulezidenti Museveni e Kololo egiriyo enkya nga 12. 05.2016.
Bakaleke akakasa nti ebidduka byonna ebireeta abantu ku mikolo byakubaamu abaserikale okuviira ddala gyebisumbula okutuuka e Kololo ate nemukuddayo bwegutyo.
Ayongera okukilambika nti bayiye Police, Amagye wamu ne bambega ku nguudo zonna oluvannyuma lw’okufuna e mpulubujju nti waliwo abaagala okutabangula emikolo gyokulayiza Pulezidenti.