Police ya Yuganda egamba nti yaakutandika kaweefube w’okuzimbira abaserekale ebisulo ebiri ku mulembe okwetoloola eggwanga lyonna .
Ssaabaduumizi wa Police mu ggwanga General Kale Kayihura agamba nti kiswaliza ddala okulaba nga ebitebe bya Police ebimu bikyalina obuyumba obwazimbibwa mu biseera by’abafuzi b’amatwale obuswaliza ddala ekitongole kya Police .
Kayihura ayongerako nti kaweefube ono agendererwamu okuzimba ebisulo by’abaserikale ba Police ku kitebe kya Police e Naguru ate oluvannyuma kino kisaasaanire ebitebe bya Police wonna mu ggwanga .
Mu ngeri y’emu Kayihura alagidde abaserikale okwongera amaanyi mu mulimu gw’okukuuma n’okulawuna ebitundu kiyambeko ku kukendeeza obumenyi bw’amateeka