Omumyuka wa akulira Police mu ggwanga, FRED YIGA agamba nti Police mu bitundu yeetagisa okutegekanga enkiiko abantu ba bulijjo mwebalina okwogerera ebibaluma, nga kino kiyinza okukkakkanya ku busungu abantu bwebabeera nabwo sinakindi nga kino kyekiviiraako n’abamu okutwalira amateeka mu ngalo.
Ono asinzidde mu kibangirizi kya park ya taxi e Mityana mulukungaana lwakubye olugendereddwamu okuwulira ebizibu ebiruma ba nnamityana nga bisibuka ku butali butebenkevu era nga bangi ku bantu battottodde bingi ebibaluma, n’okulumiriza Police y’e Mityana nga bw’etalina ky’ e bayambye.
Ono okwogera bwati, kiddiridde omukyala ategeerekeseeko erya
Nakasi atemera mugy’obukulu 60 bw’akutte akazindaalo ne yeelayirira okutema aba Police ng’asinziira ku ngeri gye bamutulugunyamu n’okumuwambako ebintu .
Kyokka mukuddamu Fred Yiga agambye nti Kyannaku omukyala nakazadde okulangirira ebigambo bino emisana ttuku nga oboolyaawo Police yeetagisa okutegekanga enkiiko abantu mwebayinza okubotolera ebibaluma .