Uganda Police Force eriko abakozi ba Gavumenti 6 begombyemu obwala nga kuliko n’omusirikale waayo mu Disitulikiti y’e Bugiri. Bano okukwatibwa kidiridde Minisita Peter Ogwang okukyalako mu bitundu by’e Busoga okulondoola emirimu gya Gavumenti nga bwegikolebwa okuyamba abantu bawansi. Ono akizudde nti waliwo emirimu egyakolebwa ku ssente y’omuwi w’omusolo wabula nga tegituukana namulembe.
Abakwatiddwa kuliko; Mugoya Samson nga ono ye Municipal Engineer w’e Bugiri Municipality, Ikaaba Fred District Engineer Bugiri, Isiko Kalifani Contractor, Samuel nga ono yakulira eddwaliro lya Yiwemba Health Centre III ne Kakaire James O/C Yiwemba Police Post ssaako n’omwami w’e Gombolola lya Yiwemba.
Bya Willy Kadama