Poliisi e Mbale ekutte abadde atisse ente 3 mu Noah

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Mbale ekutte omuntu omu ateeberezebwa okuba omubbi w’ente. Mu kikwekweto kyekimu Poliisi era yakutte emotoka ekika kya Noah nnamba UBD 698F ngeno yabadde etikiddwamu ente 3 eziteeberezebwa okuba enzibe ku luguudo lwa Mbale – Tororo.

Leave a Reply