Adduumira police e Mubende Okoyo Martain ategezezza nti omusaavu bano okukwatibwa kidiridde ebikolwa byo okuwamba abantu no okutiisatiisa okubawamba okweyongera ennyo e Mubende.
Mubakawambibwa kwe kuli omwana owe myaka 3 Kabugo Evelyn gwe bawamba ku bakadde be ku kyalo Kkuminamukaaga nebabasaba obukadde 5 n’oluvannyuma ne bamusuula mu park ya taxi e Kasambya.
Okoyo agaseeko nti era kubakwate bano 7 kuliko nabadde atiisatiisa abasuubuzi okubawamba nga babasaba ensimbi eziri wakati w’obukadde 5 no 6 mu bitundu bya district ye Mubende okuli Mubende municipality ne gombolola ye Kasambya.