Ephraim Luyira 36, akwatiddwa poliisi ye Mukono lwakuyiira mukazi we Betty Nyamiradayizima amazzi agookya namwokya omubiri gwonna oluvannyuma lw’okuyombagana mu maka.
Olutalo lwavudde ku Luyira okulumiriza Mukazi we nti aloga bajja be. Luyira alina abakyala 3 wabula asanga obuzibu okubagabanya omukwano. Oluvannyuma lw’ebizibu ebibadde bitawanya Family, Luyira yakomyewo natandika okukuba mukyala we nga amulangira okuleeta ebisiraani eri bajja be bwatyo n’amuyiira namuyiira amazzi agookya agabadde gafumbibwa ku sigiri n’amwokya omubiri gwonna.
Nyamiradayizima yakubye enduulu eyasombodde abatuuze abazze okumuyamba bwebatyo nebayita Poliisi eyazze nekwata Luyira bweyabadde agezaako okudduka.