Poliisi e Mukono ekutte omusomesa wa myaka 43

Abdul Ziwa 43 nga musomesa ku St. Stephen’s Primary School Nakapinyi nga ssomero lya Church of Uganda erisangibwa mu Nama Sub-county mu District y’e Mukono yakwatiddwa ku bigambibwa nti asobya ku bayizi.

Ono nga musomesa wa Social Studies mu P.5 – P.7 kigambibwa nti abadde asobya ku bayizi basatu okuli ow’emyaka 13, 14, ne 15 nga bonna bayizi mu P.7.

Abaana ababiri bagamba nti yabasobyako omulundi gumu wabula ye omulala agamba nti abadde yakamusobyako emirundi 6. Ono abadde abasuubiza okubayamba okuyita ebigezo bya Mocks wamu n’okubayamba okubasasulira fees mu secondary mu masomero amalungi.

Abakulira essomero bagamba nti omwana omu yali yamuwandiisa nga mulekwa gw’ayamba era nga yali yamatiza bazadde nti bamumulekere amuyambe.

Kigambibwa nti omuwala omu bweyagobwa schools, omusomesa yadduka mu kibiina nagenda amukwatira mu kabuyonjo ku nnyumba z’abasomesa era namuwa 20,000/= agende asasule fees nti tayogera. Wabula oluvannyuma lwa lunch omuwala yatandika okuwulira obulumi obwamaanyi.

Bino byonna okumanyika byavudde ku muyizi omu ayabadde agenze okukola ebibuuzo bya Mocks e Luweero okugaana okudda ku somero, wabula oluvannyuma lwa ssenga we okumukambuwalira nayogera lwaki tayagala kugenda ku ssomero.

Abesomero baddukiddewo ku Poliisi nebagulawo omusango era omusomesa nakwatibwa. Omuyizi omu agamba nti yatandika okumusobyako mu May 2018, ate omulala nagamba nti yamusobyako nga 2 – july ne 22 – july.

 

Leave a Reply