Poliisi ya Uganda egamba nti etegezeddwako nga omubaka wa Kyaddondo East Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu akomawo mu ggwanga olunaku olwenkya nga 20th, 2018 nga ayita ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe.
Bwetyo Poliisi n’ebitongole ebirala ebyebyokwerinda bigamba nti bifunye amawulire nti waliwo okukunga abantu okwetoloola eggwanga lyonna nga baweebwa T-Shirts emyufu n’ebipande nga babayita okuggya okwaniriza Omubaka Kyagulanyi.
Bwetyo Poliisi ejjukiza Bannayuganda nti enkungaana wamu n’okutambulira mu kibinja kufugibwa etteeka lya Public Order Management Act (POMA) 2013. Teri muntu n’omu wadde ow’Oluganda lwe eyavuddeyo okugoberera emitendera egirina okuyitwamu mu mateeka.
Nabwekityo enteekateeka yonna ekolebwa teri mu mateeka era ejja kutaataganya emirimu wamu n’entambula okuva wamu n’okugenda ku kisaawe Entebe. Abazadde wamu ne Bannyuganda abamu sibasanyufu n’ebikolwa bino ebitali mu mateeka nga tebirina abifuga.
Nabwekityo, okusobola okukuuma eddembe n’amateeka bino byebijja okugobererwa;
Bwanatuuka ku kisaawe Entebe Omubaka Kyagulanyi ajja kwanirizibwa aba Family ye bokka.
- Ajja kuweebwa obukuumi okuva ku kisaawe okutuuka mu makaage.
- Poliisi ejakubeera ku nguudo okuzza embeera mu nteeko n’okulaba nti abagoba b’ebidduka bagondera amateeka.
- Tewajja kubeerawo lukungaana lwonna yadde oluseregende lw’emotoka.
- Olukungaana lwonna lulina okubeera mu mateeka era nga lugoberera ebiragiro bya Public Order Management Act (POMA).
- Omubaka Kyagulanyi asuubirwa okugoberera amateeka agafuga enkozesa y’enguudo.
Poliisi egenda kukolera wamu n’ebitongole byebyokwerinda mu ggwanga okulaba nti ekuuma eddembe n’obutebenkevu olunaku lw’enkya.