Poliisi egenda kukwata mwenna abagamba nti Oulanyah yafa butwa – CP Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwemaze okuggulawo omusango ku kitebe kya CID e Kibuli oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubalagira okunoonyereza kwabo bonna abavaayo nebategeeza nga Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah bweyafa obutwa.
Enanga agamba nti bakungaanyizza dda obutambi bwabo abavaayo nebakyasanguza nti yaffa butwa obuwerako nti era oluva mu kuziika bagenda kubayita babitebye.
Leave a Reply