Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Ddereeva wa loole ya Poliisi eyakwatibwa e Nakapiripirit ngettikka ensawo z’amanda bwagobeddwa mu Poliisi navunaanibwa mu Kkooti omusango gwokusangibwa nebintu okuva mu bibira ekimenya amateeka. CPL Walukayo Jude, nga akolera mu ttundutundu lya Poliisi erya Elgon e Mbale yakwatibwa n’ensawo 80 ezamanda ku luguudo lwa Nakapiripirit – Moroto ngazitisse mu loole ya Poliisi nnamba UP 9639.
Ono yavunaaniddwa n’abasuubuzi b’amanda abalala 4 okuli; Okiror Isaiah, Mugabi Peter ne Mubogi David Luke. Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’e Namalu.