Poliisi ekoze enkyukyuka mu nfaanana ya Certificate of Good Conduct okukendeeza ku biccupuli

Omwogezi wa Poliisi SP. Vincent Ssekate agamba nti Poliisi ekoze enkyuukakyuka mu bbaluwa yayo eya Interpol okusobola okumalawo ebbaluwa ez’ebiccupuli ezibadde zikolebwa abantu ab’enjawulo.

Agamba nti ebbaluwa eno empya erina ennamba eyeyawulidde giyite ‘Bar Code’ nga eno eyamba okugyawula ku y’ekiccupuli. Era ayongeddeko nagamba nti ebbaluwa eteekebwako omukono Director wa Interpol yekka okwawukanako n’enkadde ebadde eteekebwako omukono omusirikale wa Poliisi yenna.

Ssekate agamba nti ebbaluwa eno eyamba Poliisi okufuna ensimbi okuva kw’abo abagenda okukola emitala w’amayanja, abanoonya emirimu mu Kkampuni ez’enjawulo wamu n’ebitongole by’obwannakyewa era nga omuntu alina kusasula 64,000/= zokka okugifuna.

Ayongedde n’agamba nti Poliisi yakunganya ensimbi eziwerera ddala 2,288,880,000/= okuva mu bbaluwa zino mu mwaka 2017 era nga esuubira oluvannyuma lw’okuteekawo zino empya mu myezu ettaano gyokka basobodde okukuganya ensimbi eziwerera ddala 1,244,104,000/= bukya omwaka guno gutandika.

 

Leave a Reply